Leviticus 23:26-32

Olunaku olw’Okutangiririrwa

26Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 27 a“Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno ogw’omusanvu lwe lunaabanga Olunaku olw’Okutangiririrwa. Munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, muneefiirizanga ne mwerumya, era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda. 28Olunaku olwo temulukolerangako mulimu na gumu, kubanga lwe Lunaku olw’Okutangiririrwa, lwe munaatangiririrwanga awali Mukama Katonda. 29 bOmuntu yenna anaagaananga okwefiiriza ku lunaku olwo kinaamugwaniranga okuwaŋŋangusibwa n’aggyibwa mu banne. 30 cEra buli muntu anaakolanga omulimu ku lunaku olwo ndimuggya mu banne ne mmuzikiriza. 31Temulukolerangako mulimu n’akatono. Eryo linaabeeranga etteeka ery’enkalakkalira, ery’emirembe gyonna egigenda okujja mu bifo byonna gye munaabeeranga. 32Lunaabeeranga lwa Ssabbiiti na kuwummulirako gye muli, era muneefiirizanga. Munaakuumanga Ssabbiiti yammwe okuva ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi akawungeezi okutuusa ku kawungeezi akaddirira.”

Copyright information for LugEEEE